Katonda yaleka Abayisirayiri okufuuwa ekkondeere ery’okwenenya ku Mbaga y’amakondeere,
olunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu ku kalenda entukuvu okusobola okwetegekera
olunaku olw’okutangirira, olunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu ku kalenda entukuvu
Musa lwe yafuna Amateeka Ekkumi omulundi ogw’okubiri.
Mu by’omwoyo, ye mbaga ekubiriza abantu bonna, abakoze ebibi ebitasonyiyibwa mu
ggulu era ne bagobwa ku nsi eno, okwenenya, nga bagamba nti,
“Mwenenye okuyita mu ndagaano empya, muddeyo eri Katonda.”
Leero, obwakabaka obw’omu ggulu bwe bunaatera okutuuka, abo abasuubizibwa
obwakabaka obw’omu ggulu nga bayita mu kwenenya okujjuvu balina okufuuwa ekkondeere erikwata
ku ssaddaaka n’okwagala kwa Katonda eyabalokola okuyita mu ndagaano empya
ensi yonna esobole okwenenya n’okudda eri Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama.
Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku
olw’olubereberye olw’omwezi, wanaabangawo okuwummula
okw’okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky’okufuuwa amakondeere,
okukuŋŋaana okutukuvu.
Eby’Abaleevi 23:24
Ng’agamba nti, “ekiseera kituuse,”
“Obwakabaka bwa Katonda busembedde, Mwenenye, mukkirize enjiri!”
Makko 1:15
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy