Abantu baalimbibwa Sitaani mu bwakabaka obw’omu ggulu era, bwe baali balye Katonda olukwe, ne basuulibwa wansi ku nsi eno olw’ekibi ekyo. Okunoonya abaana ababuze okuva mu ggulu, okubawa okusonyiyibwa ebibi, n’okubazza mu bwakabaka obw’omu ggulu, Yesu yajja emyaka 2,000 egiyise, era Kristo Ahnsahnghong nga ye ne Katonda Nnyaffe bazze mu mulembe guno.
Okuyita mu ngero z’ebitone ne mina, Yesu yayigiriza mu bujjuvu engeri abaana abatuuse okutegeera okwagala kwa Katonda gye bayinza okuleeta essanyu eri Katonda. Nga Katonda bw’abadde abuulira obutasalako okunoonya abaana ababuze okuva mu ggulu, naffe tulina okunoonya baganda baffe ne bannyinaffe ababuze —kino kye kirabo eky’omuwendo ennyo kye tuyinza okuwa Katonda.
Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo. N'abagamba nti Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira. Makko 1:35, 38
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy