Buli kigambo kya Katonda ekiwandiikiddwa mu Baibuli kituukirira awatali kulemererwa. Baibuli yawa obujulirwa ku Yesu eyajja emyaka 2,000 egiyise, era ewa obujulirwa ku mulimu gw'obulokozi ogugenda okukolebwa mu mulembe gw'Omwoyo Omutukuvu, Kristo Ahnsahnghong nga ye ne Katonda Nnyaffe, abazze ng'Omwoyo n'Omugole.
Baibuli eragula nti abantu abalilokolebwa —abo abalina okukkiriza okuwangula mu nsi eno efugibwa Setaani —lye zzadde ly'omukazi erisigadde, abakuuma ebiragiro bya Katonda. Era kikakasa nti nabo, okufaananako Isaaka, bajja kufuna obusika bw'obwakabaka obw'omu ggulu nga bayita mu Nnyaffe.
Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange; Yokaana 5:39
N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu... Okubikkulirwa 12:9, 17
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy