Abantu bangi bakkiriza nti olw’okugenda mu
kkanisa, bafuuka abantu ba Katonda ab’amazima.
Kyokka, olw’etteeka lya Katonda ery’obulamu,
ayawula wakati w’abantu abatuufu n’ab’obulimba.
Abantu ba Katonda ab’amazima, abalina obutuuze
mu ggulu, balina okukuza olunaku
lwa Ssabbiiti, olujjukira amaanyi g’Omutonzi,
n’Okuyitako, olujjukira amaanyi g’Omununuzi.
Nga Sulemaani, kabaka w’amagezi bwe yakozesa
enjuki n’ebiwojjolo okwawula ekimuli ekipya ekyobutode
ku kimuli eky’ekikyupuli, Katonda ayawula abantu
be ab’amazima ng’ayita mu biragiro
bye ng’olunaku lwa Ssabbiiti n’Okuyitako.
Leero, ba memba abatabalika okwetoloola ensi
bakuuma ebiragiro bya Katonda —akabonero k’abantu
ba Katonda —nga bikomezeddwawo okuyita mu
njigiriza za Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama.
Nga bwentela okubabulilako, ne kaakano
mbabuulira nga nkaaba amaziga, bangi babelawo
nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo:
enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe
lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri
mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi.
Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; . . .
Abafiripi 3:18–20
Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu
gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa:
kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo
ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
Okuva 31:14
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy