Ebisaanyizo by’okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu bya abo bokka abakola Katonda by’ayagala. Baibuli bwe bubaka bwa Katonda obw’obulokozi eri abantu bonna, obwawandiikibwa bannabbi abaakubirizibwa Omwoyo Omutukuvu okuwandiika by’ayagala. Eno y’ensonga lwaki Katonda yalagira nti tetulina kwongera ku bigambo byayo oba okubiggyako.
Mu Baibuli, Katonda ayogerwako mu bungi, so si mu bumu, emirundi nga 2,500. Ekirala, Baibuli ewa obujulizi nti nga maama bw’ali mu nsi y’ebimera n’ensi y’ebisolo ebyatondebwa okusinziira ku Katonda by’ayagala, bwe kityo ne mu bwakabaka obw’omu ggulu, waliwo Katonda Nnyaffe, awa obulamu obutaggwaawo, era awo we wali amaka gaffe ag’omu ggulu ag’omwoyo.
Kale, "Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza," Era, "nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala, bw’ayogera Mukama Omuyinza w’ebintu byonna." 2 Abakkolinso 6:17–18
Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu kye ky’eddembe, ye nnyaffe. Abaggalatiya 4:26
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy