Nga bwe kyawandiikibwa nti, “[B]onna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga,” era nga Yesu bwe yagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okungoberera, . . . yeetikkenga omusalaba gwe . . . angoberere,” okubonaabona okw'akaseera akatono kuteekwa okugoberera obulamu bw'abo bonna ababeerawo ku lw'ekitiibwa ky'obwakabaka obw'omu ggulu.
Esawu ne Yuda Isikalyoti baawangaala ng’omubiri bwe gwali, nga bagoberera essanyu ly’ekibi, era okukkakkana nga bafiiriddwa emikisa gy’obwakabaka obw’omu ggulu. Kyokka, Musa, Yakobo, Danyeri, ne mikwano gye abasatu baavvuunuka ebizibu nga batwala eby’amasanyu eby’omu ggulu nga bya muwendo nnyo. Mu ngeri y’emu, bammemba b’Ekkanisa ya Katonda bateeka essuubi lyabwe mu ssanyu ly’eggulu Katonda lye yasuubiza, ne beewaayo okubuulira emikisa egy’olunaku lwa Ssabbiiti olw’endagaano empya n’Okuyitako, nga bwe yalagira.
Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okukira okubanga n'okwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu; ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo. Abaebbulaniya 11:24–26
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy