Mu kiseera Abayisirayiri we baava e Misiri, obutyabaga bwagwa ku nsi yonna, naye tebwaatuuka ku Bayisirayiri. Eno ye njawulo wakati w’ekifo ekirimu endagaano ya Katonda n’ekitaliimu. Katonda awadde ekisuubizo ekinene nti wonna ekiragiro kye — Okuyitako kw’endagaano empya — we kinaakuumibwa, abantu be bajja kuweebwa omukisa nga bayingira era nga bafuluma, era ajja kubagulumiza okusinga amawanga gonna ag’oku nsi.
Bannabbi Isaaya, Zeffaniya ne Peetero bategeeza nti akatyabaga akanene ak’omuliro kajja kujja ku nsi eno kubanga ensi tekwata ndagaano mpya, omuli olunaku lwa Katonda olwa Ssabbiiti n’Okuyitako. Baibuli eraga nti abantu mu kukuuma endagaano ya Katonda mwokka mwe basobola okufuuka abaana ba Kitaffe Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe ne bafuna obukuumi bwe mu butyabaga bwonna.
Awo olunaatuukanga, bw’onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi: n’emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo. . . . Onoobanga n’omukisa bw’onooyingiranga, era onoobanga n’omukisa bw’onoofulumanga. Ekyamateeka Olwokubiri 28:1–6
Awo olulituuka bw’olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe? kale n’olyoka obagamba nti Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw’ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange; Yeremiya 16:10–11
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy