Obuwanguzi oba okulemererwa kw’omulimu gw’enjiri kisinziira ku ngeri okukkiriza kwaffe mu Katonda gye kuli okunywevu. Nga Katonda bwe yatulaga mu ntalo za Gidyoni ne Yoswa, ab'okukkiriza okukankanyizibwa embeera baggyibwa mu ggye lye. Bokka abalina okukkiriza okunywevu mu Katonda be bawandiika ebyafaayo by'obuwanguzi.
Katonda aluŋŋambye buli mulembe mu ngeri etalowoozebwako muntu. Ne mu mulembe gw'Omwoyo Omutukuvu, bwe tukkiriza ebigambo bya Kristo Ahnsahnghong nga ye ne Katonda Nnyaffe, “Taasa ensi,” tumaliriza omulimu gw'eggye ly'omu ggulu, okutuukiriza enjiri y'obwakabaka.
Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi. 2 Timoseewo 2:3–4
Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti "Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo." Matayo 28:18–20
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy