Abaana ba Katonda bwe bafuuka omunnyo n’ekitangaala by’ensi okusinziira ku njigiriza za Katonda, ne balaga ekitiibwa kya Katonda nga bayita mu bikolwa byabwe ebirungi, ne bakulembera abantu eri Katonda n’amazima g’endagaano empya, Katonda ajja kusanyuka era abawe emikisa egiyitiridde ku lunaku lwe banaayimirira mu maaso ge.
Bwe tuba nga tufunye Kristo Ahnsahnghong ne Nnyaffe ow’omu ggulu Yerusaalemi mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu, okuva kati, tulina okusuula emize emibi gye twayigira mu nsi ne twambala omuntu omuggya ng’Abakristaayo. Ensi eno bw’eyeyongera okufiirwa okutya Katonda n’efuuka enkyamu era embi, tulina okukimanya nti olunaku lw’omusango gwa Katonda lusembedde, nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa ne Lutti, era tweyongere okubeera n’obulamu obw’okutya Katonda.
Kyenvudde mbeegayirira, ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi. So temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu. Abaruumi 12:1–2
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy